
Mu ggwanga lya Guinea Omulwadde wa Ebola yekka abadde akyali ku ndiri naye asiibuddwa okuva mu ddwaliro mu kibuga ekikulu ekya Conakry.
Omulwadde ono azze akeberebwa enfunda eziwera okutuusa lwebamuzudde nti ddala takyalina kawuka ka Ebola.
Guinea yakulangirirwa nga ewatakyali Ebola singa tewabaawo Muntu yenna addamu kukwatibwa Ebola.
Ebola ono eyatandikira mu ggwanga lya Guinea y’atta abantu abasoba mu mutwalo omulamba.