
Okuwulira okujulira kweyali maneja wa Sports Club Villa ku kyokumusiba emyaka 10 olwobusiyazi kugudde butaka.
Kino kiddiridde bannamateeka be nga bakulembeddwamu Anthony Kawesa okutegeeza kkooti enkulu nga bwebabadde tebetegese bulungi kale nga basaanayo akadde.
Omulamuzi Rugadya Atwoki alagidde Mubiru addeyo ku mere e Luzira akomewo nga 24 batunule mu kujulira kwe.
Mubiru y’asibwa emyaka 10 mu September w’omwaka gino oluvnyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza okutegeza nti obujulizi ddala bulumiza Mubiru ku by’okuggula buutu y’omulenzi nga alina n’okumuliyirira obukadde 50.
Omulamuzi yategeeza nga bwebafuna obujulizi bwebikozesebwa mu kusiyaga ebyajibwa mu nyumba ya Mubiru kale nga ono ogw’ebikolwa bya sodome ne gomola yali taguwona.