
Abakozi abagabula ababaka ba palamenti ebyokulya beediimye lwakumala kumpi emyezi 8 nga tebasasulwa .
Bano basasulwa wakati w’emitwalo 200,000 ne 400,000 buli mwezi.
Bano kati baagala kampuni ya Ninats Company ebakozesa ebasasule mangu.
Omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara naye ensonga zino aziyingiddemu n’ategeeza nga bw’agenda okubayamba okufuna ssente zaabwe.