Skip to content Skip to footer

NRM esazizzaamu okulonda, mu Bugisu, bayomba

File Photo: Muna Nrm nga londa
File Photo: Muna Nrm nga londa

Akamyufu ka NRM mu bitundu bye Bugisu kafumbekedde buvuyo na kwekalakaasa.

Amannya ga bantu agamu tegabadde ku nkalala, ebikozesebwa mu kulonda bituuse kikereezi sso ng’ate ewalala ebituuseeyo bibadde tebimala.

E Mbale mu kitundu kye Wanale, abaana abali wansi w’emyaka 15 balabiddwaako nga nabo balonda.

E Tororo enkuba eya maanyi etonye eyingiridde emirimu era okulonda ziweze ssaawa nnya nga tekunnaba kutandika.

In Butaleja, abawagizi bajjeeyo amayinja nebatandika okwekuba okukkakkana ng’amayumba agali okumpi n’eggaali y’omukka gateekeddwa omuliro.

E Manafwa, omubaka Simon Mulongo abalonzi bamutabukidde okukkakkana nga bamugobye mu kulonda.

Nga bino byonna bigenda mu maaso ekibiina kya NRM kikkrizza nga bwewabaddewo obuzibu era nga y’ensonga lwaki bongezezzaayo okulonda.

Ng’ayogerako eri bannamawulire, amyuka omwogezi wa NRM Ofono Opondo agambye nti ebizibu bivudde ku mpandiika ya mannya g’abantu, n’okutambuza ebirondesa ekikeereezi.

Ofono kyokka era agamba nti bataddewo emmeeza enaakola ku balina okwemulugunya

Leave a comment

0.0/5