Poliisi ye Nakasongola eri ku muyiggo gw’omusajja alumbye munne n’amutta nga amutebereza okumwagalira omukazi.
Geoffrey Owere owokukyalo Kyanika y’alumbye amaka ga Eddie Lugoloobi n’amutematema oluvanyuma omulambo gwe n’agutekera omuliro.
Mu kavuvungano kano n’omukyala w’omugenzi amutusizzaako ebisago ebyamanyi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savvanah Lameck Kigozi omukazi alumiziddwa amumenye nga Mary Atto nga omutemu ye n’okutuusa kati akyalira ku nsiko.
Kigozi avumiridde ekikolwa kino n’asaba abantu bulijjo okuwaaba eri poliisi mu kifo ky’okutwalira amateeka mu ngalo.