Skip to content Skip to footer

Okukuza olunaku lw’okunaaba mungalo

File photo: Omuntu nga naba mu ngalo
File photo: Omuntu nga naba mu ngalo

Nga eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’okunaaba mungalo mu nsi yonna, gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kumanyisa abantu akalungi akali mu kunaaba mu ngalo ne sabbuuni.

Kiddiridde abaana okwongera okufa endwadde eziva ku buligo bw’obukyafu lwabutanaaba ngalo.

Omukwanaganya w;enteekateeka etumbula okunaaba mungalo mu ggwanga eya Hand Washing Initiative Uganda Robert Otim ategezezza nti yadde nga bangi bamanyi amakulu g’okunaaba engalo, batono abakozesa sabbuuni.

Otim agamba obulagajavu buno buvuddeko endwadde eziva ku bukyafu okutta abawere 90 buli lunaku okwetolola eggwanga lyonna.

Otim bino abyogedde eggwanga lyetegekera okwegatta mu nsi yonna mu kukuza olunaku lw’okunaaba mungalo.

Leave a comment

0.0/5