
Abazigu ababadde babagalidde n’emmundu bakubye omusajja amasasi agamutiddewo bw’abadde agezaako okubalmesa okubba ensawo ya mwanyina omubadde omukadde 16.
Bino bibadde wali mu zooni ya Kevina e Nsambya.
Aron Owmungu Buganda wa Ruth Ninsiima akola ku mobile Money y’akubiddwa amasasi mu kifuba oluvanyuma abatemu nebabukira bodaboda nebabulawo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala N’emirirano Partrick Onyango akakasizza obutemu buno n’ategeeza nga bwebatagedde omu ku batemu kale nga bakutandika okubagwa mu buufu.
Ms Ninsiima y’afunye obukadde 16m okuva mu dduuka erimu mu konteyina Village n’aziteeka mu nsawo wabula abazigu nebamugoberera okutuuka ku dduuka lye e Nsambya.