Bya Benjamin Jumbe
Abakadde mu gwanga okuyita mu Elders Forum balabudde abekibiina kya NRM ne gavumenti ku kabi akali mu kujjawo akawayiro 102/b mu ssemateeka we gwanga, okujja ekkoo ku myaka gyokulmebze 75 egyalambkibwa nti gyalina okukomako okufuga.
Bano bwebabadde batudde olwalero, bogedde ku mbeera yebyobufuzi eganda mu maaso mu gwanga ngesnobi.
Ssentebbe wabakadde mu gwanga, Omulamuzi James Ogoola era agambye nti waliwo nobwetaavu okukuuma eddmbe lyobuntu.
Bbo abakadde abalala okubadde Peter Mulira, David Kazungu, Roda Kalema, Margaret Ssekajja, Prof. Apollo Nsibambi balabudde nti obukulembeze obubi bwebuvaamu embeera yokweyagaliza ekiyinza okuvaako obutabanguko mu gwanga nokuyiwa omusaayi.