Bya Kyeyune Moses
Omubaka we ssaza lya Ruhinda North mu palamenti, Thomas Tayebwa asanze akaseera akazibu okuva eri babaka banne olwe bbago eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Ebbago nattabula eryomubaka wa Igara West Raphael Magyezi lirubiridde okujjawo ennyingo 102 (b) mu ssemateeka we gwanga, eyali yateeka ekkomo ku myaka omukulembeze we gwanga gyalina okukomako okukulembera.
Tayeba, ngawagira ne ssekuwagira yenna ebbago lino abadde agenze mu kakiiko ka palamenti akamteeka okuwa endowooza ye, afunye okuwakanyizbwa okuva mu babaka owa Kumi Monicah Amoding nowamasekati ga Kampala Mohammad Nsereko nga bano babade bagamba nti kibadde kiseera kyabantu babulijjo so ssi babaka ba palamenti.
Wabula ssentebbe wakakiiko, omubaka Jacob Oboth Oboth ddaaki akirizza Tayebwa okutekayo ensonga ze mu buwandiike, naye takiriziddwa kwogera.
Ate ekibinja kyabavubuka abeyita aba “Kick age limit out of the constitution” balabiseekeo mu kakaiiko ka palalmenti kekamu olwaleero nga bawagira butereevu ebyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Bano babadde bakulembeddwamu Kasim Kittata nga bagambye nti tewaali nsonga lwaki etteeka likiriza owemyaka 18 okufuuka omubaka wa palamenti nokufuuka spiika, ate eteeka lyerimu nerigaana owemyaka egyo okwesimbawo ku bukulembeze bwe gwanga.
Bano omubaka wanasekati ga Kampala Muhamadh Nsereko, batadde ku nninga okunyonyola obanga ddala owemyaka 18 abeera nembavu okukulembera egwanga.
Wakati mu kubakunya, okuva eri omubaka Mohammad Nsereko abavubuka bano, bagambye nti Uganda kankano ejjuddemu ba musaayi mutto, atenga ennyingo yemyaka ebakugira okukulembera.
Mu ssemateeka ku nnyingo eno 102(b) atanaweza myaka 35 ate nooyo asussa emyaka 75 takirizibwa kuvuganya kubwa president.