
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya yefudde n’addayo eri pulezidenti Museveni
Bukenya aludde ng’alumba pulezidenti Museveni kati agamba nti wakuwagira yye mu kulonda kw’omwaka ogujja
Bukenya ategeezezza nga bweyazzeemu okusisinkana pulezidenti Museveni era nga kati yakakikola emirundi ena nga tewakyali kubuusabuusa azzeeyo ewaka.
Bukenya agambye nti obutali bwesimbu mu bavuganya bwebusinze okumusindikiriza okudda mu NRM ate nga pulezidenti Museveni akoze ku nsonga ze kale nga tewali nsonga lwaki tadda waka
Yye Dr Kiiza Besigye agamba nti ekya bUkenya okusala eddiiro teyewunyisa kyokka n’akissa ku butaba na mugongo
Mu ngeri yyemu yye ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agamba nti tebasaaliddwa bUkenya kubanga talina ky’agasseeko