Abaana bataano beebalumiziddwa ebyensusso mu kabenje ka motoka akabadde wali e Kibuli.
Akabenje kano keetabiddwamu motoka kika kya Toyota Mark 2 eremeredde omugoba waayo n’esabaala abaana bano ababadde ebbali w’ekkubo.
Abaana bano babadde bagenda mu mizannyo akabenje wekagwiriddewo.
Kano kabadde ku kkubo erigenda ew’omulangira Nakibinge.