Bya Ali Mivule
Omubaka wa Makindye West mu palamenti Allan Ssewanyana awawabidde akulira omupiira Moses Magogo mu kibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA nti yabulankanya tiketi z’ekikopo ky’ensi yonna ekya 2014.
Ssewanyana agamba tiketi zino zaali ziweereddwa bannayuganda mbu Magogo n’aziguza abantu abalala.
Omubaka ono nga y’omu ku bananyini kiraabu ya Katwe United Football Club era minisita w’ebyemizanyo mu gavumenti y’ekisiikirize agamba abantu nga bano basanye okuvunanibwa.
Ssewanyana ayagala FIFA enonyereze ku Magogo kbanga tiketi 177 zonna ezaweebwa bannayuganda zaguzibwa bagwiira.
Wabula FUFA nayo yewozezzaako .Omwogezi Ahmed Hussein ategezezza nti byonna ebyogerwa Ssewanyana byampuna era abikola lwannugu oluvanyuma lw’okuwangulwa mu kalulu k’abakiise ba FUFA.