Bya Abubaker Kirunda.
Tutegeezeddwa nga e Mayuge abatuuze bwebalabye katemba atali musasulire omukyala wa myaka 27 bwagenze mu kabuyonjo ne muganziwe besanyuseemu , kyoka wakati mu sanyu lino omukyala asirituse naagwa mu kabuyonjo.
Omukyala agudde mu kabuyonjo YE Shamim Nyumbahe nga ono mutuuze we Kalagala mu gombolola ye Bukaboli .
Ssentebe w’ekitundu kino Bakali Mufumbiro agamba nti bano okumanya nti waliwo emitawana bamaze kuwulira nduulu kwekugenda okutaasa.
Ono alabude abaagalana okukoma okugenda nga mubifo nga bino okwesanyusaamu kubanga byabulabe.