Skip to content Skip to footer

Banna’Yuganda tebalina busobozi mubyamafuta

Bya Ivan Ssenabulya

Ministry eyamasanyalaze nebyobugagga ebyomu ttaka ekakanyizza bann-Uganda abemulugunya ku makampuni ge bweri nti gokka gegawereddwa meiimu gyokusima amafuta.

Ronald Gobola omukulu okuva mu kitongole ekivunayizibwa ku mafuta ge gwanga, ategezeza nti naga kuno galiko emirimu ejijja okugaweebwa, webalina obusobozi.

Okwogera bino abadde mu lukungaana olutudde e Mukono ogutudde ku kitebbe kya district nga gukwata ku byamafuta.

Mu kiseera kino kampuni 5 nga zonna ngwira zezakaweebwa emirimu gyokusima amafuta.

Ate Ssentebe wa district ye Mukono Andrew Ssenyonga asabye
abakola kampuni za’mafuuta nabavunanyizibwa balowooze nnyo ku kyokuwa banansi emirimu.

Bino Ssenyongay abyogeredde mu musomo gwegumu.

Agambye nti yenegri yokka banansi gyebayinza okuganyulwa.

Leave a comment

0.0/5