Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ekutte ababadde batigomya abasubbuzi bomu-Kampala.
Police ya Arua Park ngekulembedwamu Tomas Baboineki ekoze ekikwekweto ku kabinja k’abavubuka ababadde bataayiza abantu abasuubula mu Kikuubo nga bava mu bbanka ne babanyagako ensimbi.
Kino kiddiridde abasuubuzi mu bitundu okuli Kikuubo, Arua Park ne Nebbi Park abatwala ebintu mu South Sudan ne disitulikiti z’obukiika kkono bwa Uganda okwekubira omulanga eri poliisi ku kabinja kano.
Kigambibwa nti akabinja kano kaateega omusuubuzi eyali agenda okusuubula ebintu ne bamukuba bubi nnyo ne bamubbako ssente zonna zeyali agenda okugulamu ebintu okubitwala e South Sudan era yawonera watono okufa nga nabantu banji bazze balajana.