Bya Gertrude Mutyaba
Abasawo boku byalo ba Village Health Teams ku mwalo gw’e Lambu mu district ye Masaka beekubidde enduulu eri gavumenti nga bemulugunya kungeri gyebatafibwako.
Abasawo bano nga bakulembeddwamu Harriet Nassali ne Nalongo Jesca Nassanga bagamba nti bakola omulimu munene nnyo mu bantu kyokka bakomekkera tebasasuddwa wadde ekikumi nga wano baagala gavumenti ebalowozeeko kuba balina abantu bebalabirira omuli n’okuweerera abaana babwe.
Bano bagamba nti baakoma kubawa Tshirts emyaka nga 7 emabega.
Robert Kizza ng’ono akola nga kansala mu ddwaliro lya Kaabasese health centre III agamba nti ye afuna shs 2000 zokka buli mwezi zagambye nti ntono nnyo nga gavumenti yetaaga okubatwala nga ekyamakulu.