Skip to content Skip to footer

Omusawo we Makerere ayitiddwa ku byokubawaza abayizi

Bya Ndaye Moses

Abakulu ku ttendekero lye Makerere bayise omusomesa Dr Swizen Kyomuhendo, ngerinnya lye lyanokodwayo mu ggulire eryavudde mu kunonyereza okwenjawulo ku TV emu nga bwabaddenga yenyigira mu kukubawaza omwana owobuwala.

Mu bbaluwa eyawandikiddwa eri Dr Kyomuhendo, alagiddwa okwenyonyolako mu alipoota ejjudde opbulungi eri bakama be ku biki ebyamwogeddwako.

Wabula guno ssi gwemusango gwokka ogwekuusa ku kwesa empiki zopmukwano abayizi nabasomesa ga waliwo alipoota endala eyakolebwa, omwaka oguwedde wabula ku bawala 8 ababuzibwa 6 bagamba nti bayita mu mbeera enzibu.

Omumyuka wa ssenkulu ku ttenedekro ekkulu lino Makerere University, Prof Barnabas Nawangwe akakasizza okuyita Dr Kyomuhendo era ajje nga yetegese bulungi okwenyonyolako.

Mungeri yeemu Prof. Barnabas Nawangwe alaze okutya olwebikolwa bino ebigenda byeyongera buli lunnaku olukya.

 

Alabudde nti ebibonerzo ebikakali byakuweebwa bonna abanazulwa nti benyigira mu bikolwa byobukaba nabayizi.

Leave a comment

0.0/5