Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayise bukubirire atwala eby’okutekeerateekera ekibuga Andrew Kitaka
Akakiiko kano kabadde kakamala okuyimiriza okuzimba kwonna ku ttaka okwaali kutudde essomero lya Nabagereka kyokka era nekasaba ab’akakiiko k’ettaka okulaga empappula zonna ezikwata ku ttaka lino.
Akakiiko kano akakulirwa Robert Migadde kakyadde ku masomero agawera okuli Nakasero primary school ne Buganda road primary school nga lino llyo lyatundibwaako kisaawe
Migadde agamba nti kati balinda biwandiiko bya KCCA okwongera okunonyereza ku ngeri ettaka gyerizze libbibwa