Skip to content Skip to footer

Ebya Monitor bifu- Wafula Oguttu

Monitor poll wrong

Abava ku ludda oluvuganya mu palamenti bawakanyizza ebyafulumidde mu mpappula z’amawulire nga biraga nti bannayuganda bangi bakyawagira  pulezidenti museveni.

Aba Daily monitor nga bali wamu n’ekibiina kya Uganda Governance Monitoring Platform  kulaga nti abantu bangi bawagira eky’ababaka mu palamenti ekya pulezidenti museveni okuddamu okwesimbawo bwekiwagirwa abantu abaweza ebitundu 54 ku kikumi ate nga ebitundu 33 ku kikumi bokka beebakiwakanya.

Wabula akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Wafula Oguttu agamba nti kino tekisobola kukozesebwa kugamba nti museveni wakuwangula mu mwaka 2016

Wafula agamba nti eky’abantu okuwagira museveni kyandiba nga kivudde ku nsimbi ezigabibwa

Leave a comment

0.0/5