Bya Ruth Andera.
Bwetutandikirako mu kooti y’ekinamajje etuula wano e Makindye galaga nga eyali omuyima wa Bodaboda 2010 Abudallah Kitata leero bwatandise okwewozaako mu kooti eno ku misango egirudde nga gimuweebwako obujulizi mu kooti eno.
Emisango ono gyawerenemba nagyo kwekuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa songa si munamajje amanyiddwa mu gwanga.
Mukwewozaako Kitata akaladde nateeeza nga bwatakwatanga ku mundu , wadde okumanya amasasi bwegafaafana.
Ku nsonga za pistol n’emundu ekika kya SMG kitata agambye nti kooti egwana ebuuze omukuumiwe Sowali Ngobi , nga ono yalina okunyonyola butya emundu eno bweyatuuka mu motoka ye.
Bwabuuzidwa gyeyajja omukuumi, kitata agambye nti mu mwaka gwa 2010 mu kwekalakasa kwa kabaka nga agaaniddwa okugenda e Bugerera yagenda ewa ssentebe w’ekibiina kya NRM Kaguta Museveni naamusaba obukuumi, era bwayo naalagira Gen Kaihura okumuwa omukuumi atali mungoye za yinifomu kale kwekumuwa Ngobi.
Ono takomye awo yeeganye n’ekyokubeera omuyima wa Bodaboda , nga ono agambye nti ebintu ebikwatagana ne Bodaboda 2010 naye abadde abiwulira buwulizi, kale nga nefujjo lyebaali bakola naye alivumiririra.
Bino olubitegedde kooti omusango negwongezaayo okutuusa nga January 21st 2019.