Bya Kato Joseph.
Ekitongole ekya Flying Squad Unit kizudde emotoka mukaaga eziteberezebwa okubeera enzibe , nga zino zibadde zikwekwedda mu garage ezenjawulo wano mu Wakiso ne district ezirinanyeewo.
Ekikwekweto kino kibadde kikuliddwamu Jimmy Kyambadde, nga bano batabadde mu bitundu nga Najjanankumbi Nansana, Ndeeba ne Ndejje.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agambye nti bano okuvaayo okuyigga abanyazi bano kidiridde obunyazi bw’emotoka okweyongera.
Ono agambye nti emotoka ezabiddwa zirudde nga zibibwa okuva mu maka g’abantu ab’enjawulo.