Bya Kato Joseph.
Police wano mu Kampala etegeezeza nga bwekutte abantu 300 abateberezebwa okwetaba mu bumenyi bwamateeka, nga kino kidiridde police okukola ebikwekweto mu division za Kampala omusanvu.
Ekikwekweto kino ekyabunye ekibuga kyonna kyetabidwamu abaduumira police kko n’abakulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango, era nga abaasinze okukwatibwa baggidwa mu bitundu okuli Katwe, Kisenyi, Nakivubo, Makerere Kikoni, Bwaise and Ndeeba.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire, agambye nti ebikwekweto nga bino bimazze okutongozebwa, era nga bigenderedwamu okukendeeza kubuzzi mu kadde ka kulisimasi kano.
Kubano 84 bali ku CPS, 54 bali Kawempe ,90 bali Katwe songa abalala bali wano ku Jinja Road, Old Kampala, Kira Road and Wandegeya.