Skip to content Skip to footer

Omusango gw’omuserikale eyatulugunya bannamawulire gwongezeddwayo

 

Mweisgye the terrorist

 

 

Okuwulira omusango gw’omuserikale wa poliisi avunanibwa okutulugunya bannamawulire kwongezeddwayo okutuusa nga  February 4th.

Joram Mwesigye nga y’aduumira poliisi ya Old Kampala amakya galeero alabiseeko maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road  Sanyu Mukasa wabula munnamateeka wa gavumenti  Lilian Omara n’ategeeza kkooti nga omujulizi omukulu bw’akayaali mu ddwaliro ly’e Nsambya gy’akyajanjabibwa.

 

Mwesigye  agambibwa okukkakkana ku munnamawulire Andrew Lwanga n’abalala nga bakwata amawulire g’abavubuka abekalakaasa n’abawuttula wali ku Namirembe Road.

Leave a comment

0.0/5