
Akakiiko akalondesa kalabudde abesimbyeewo okukiikirira abantu be Rubaga mu bukiikaddyo ku kukozesa olulimi oluvuma.
Jon Ken Lukyamuzi ne Kato Lubwama baayitiddwa akakiiko akalondesa ku nsonga y’okwevuma.
Ng’awayaamu naffe oluvanyuma lw’okuva mu Lukiiko luno, omubaka John Ken Lukyamuzi agambye nti yeeyawaaba mu kakiiko akalondesa ng’akooye Kato Lubwama okumusibako amatu g’embuzi
Amusabye amwetondere bagende mu maaso.
Wabula yye Kato Lubwama agamba nti tasobola kwetonda kubanga talina musango gweyazza