Bya Sadat Mbogo
Poliisi y’e Gomba etandise okunonyereza kungeri omuzannyi wa zzaala, owomuzannyo ogwakazibwako erya ani akalengedde ng’ono ye Sulah Muddu gyeyattiddwamu.
Sulah nga mutuuze ku kyalo Bulo mu district y’e Butambala kigambibwa nti baamutidde mu katale akoomubuulo akaabadde e Mpenja olunaku lwe ggulo.
Ono okuttibwa kigambibwa nti alina gweyafezeeko ensimbi olwo mikwano gye kwekutandika okumukuba, nebamutta.
Omulambo police yagututte mu gwanika ly’eddwaliro e Gombe nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.