Skip to content Skip to footer

Gavumenti bagitabukidde ku kisaddaaka baana

 

child sacrifice

Minisitule y’ekikula ky’abantu eteeredwa ku ninga olw’obutakola kimala kulwanyisa kisaddaaka baana mu ggwanga.

 

Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu akakola ku kwemulugunya kw’abantu ab’enjawulo kategezezza nga minisitule bw’etudde obutuuzi nga abaana b’eggwanga bongera okussaddaakibwa awatali mateeka gakugira kivve kino.

 

Ssentebe w’akakiiko kano  Margret Komuhangi  mwenyamivu olwa minisitule eno obutakola kimala  ku nteekateeka z’okulwanyisa ekivve kino nga banji ku beemitima emibi abasaddaaka abaana bakyayinayina.

Leave a comment

0.0/5