
Pulezidenti Museveni alagidde abakulembeze mu kibiina kya NRM okugoberera ebisuubizo by’azze akola nga tannaba kubituukiriza.
Museveni bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti ebisuubizo ebisinga by’azze akola bikoleddwaako okuleka ebitono by’akwasizza ba RDC n’aba NRM.
Ku ky’amasanyalaze, pulezidenti agambye nti kati eggwanga likola amasanyalaze agamala era ng’eggwanga lyakukoma okufuna ekibululu ssinga ne waya enkadde zikyusibwa.