Bya Samuel ssebuliba.
Abakulira oludda oluvuganya government omukyala Winnie Kiiza ategeezeza nga bwagenda okuwaliriza parliament eve muluwumula eteese ku nsonga eno mu bwangu.
Ono wavirideyo nga abagwira mukaaga bebakafiira mu gwanga mu mwezi guno oguwedde, songa olunaku olw’egulo omuwala Suzan Magara eyawambibwa natibwa mubukambwe naye yaziikiddwa e Hoima.
Kati bwabade ayogerako ne banamawulire , Kiiza agambye nti mukaseera kano police eringa egende esuulawo obuvunanyizibwa bwayo, kale nga muulimo gwa parliament okubayita banyonyole.
Kati ono agamba nti singa parliament teyitibwe mubunambiro sabiiti egya, egenda kutegeeza speaker ayite olutuula olw’enjawulo ensonga eno eyogerweko.