Bya samuel Ssebuliba.
Police mu district ye Kapchorwa ekutte omusajja wa myaka 44 nga ono alangibwa gwakudda ku kaana ka myaka 8 nakasobyako.
Ono akwatidwa okuva ku kyalo Karasa mu gombolola ye Kaptanya mu district ye Kapchorwa.
Ayogerera police yeeno Rogers Tayitika agambye nti ono akaana keyasobezaako kabade kava kuluzi, kyoka kabade kakomawo nakavumbagatira okukakana nga akasobezaako.
Akaana kano kabadde kagaanye okutemya ku bazadde baako, nga kagamba nti omusajja ono abade akatisatisiza okukatema.
Ono kati atwalidwa ku police ye kapchorwa abitebye.