Bya Moses Ndhaye
Government eragidde ekiwayi ekikola ku mutindo gw’ebyenjigiriiza mu ministry ekola ku by’enjigiriza okwanguwa okunonyereza ku masomero agasomesa obusawo era agatatuukana na mutindo gagalwe
Kuno okusalawo kukoleddwa minster akola ku by’enjigiriiza ebyawagulu Chrysostom Muyingo, nga ono ategeezeza nga amasomero gano bwegameruka buli kadde kyoka nga nekyegasomesa tekimanyiddwa.
Ono agamba nti singa mpaawo kyamaanyi kikolebwa okuyimiriza amasomero gano bannayuganda bayinza okufuna emitawaana nga bajanjabibwa abantu abatali batendeke.