Bya Moses Ndhaye.
Government esabiddwa okwongera okuteeka ensimbi mu bigwa tebiraze mu gwanga, nadala mukaseera kano egwanga nga likyatawaana n’ababundabunda.
Kuno okusaba kukoleddwa omukwanaganya wa parliament n’ebibiina by’obwanakyeea Jeef Wadulo, nga ono ategeezeza nti government egwana eteekewo amakubo ag’enkomeredde agayinza okuyitwamu okudukirira ebigwa tebiraze awatali kupapa.
Ono agamba nti mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogujja 2018-2019 government egwana okuteeka kubbali ensimbi obuwumbi nga 77 bugende mu nsawo enzibzi nga buno bwakukola kubigwa tebiraze.