Skip to content Skip to footer

Ttiyagaasi enyoose ku Besigye- aba FDC bawera

File Photo: Besigye nga wubira kubawagiribe
File Photo: Besigye nga wubira kubawagiribe

Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugumbulula abakulu okuva mu kibiina kya FDC ababadde bakyaddeko mu nkambi omwassibwa abantu abagobwa ku kibira mu gombolola ye Teriet e Bukwo.

Ekibinja kino ekibadde kikulembeddwaamu Dr Kiiza Besigye kiri mu kuwenja bululu mu disitulikiti ye Bukwo era nga babadde bakyaddeko mu kitundu kino.

Bano basanze poliisi yazinzeeko ekifo era wakati mu kuwanyisiganya ebisongovu, poliisi ekozesezza omukka ogubalagala n’amasasi g’ebipiira okusattulula bano .

Mu kavuvungano , abantu bangi balumuziddwa kko n’abakulu okubakwata amataayi.

Mu balumiziddwa kuno akulira obusaggula obuwagizi mu kibiina Ingrid Turinawe n’atwala eby’okwerinda Amin Sadiq.

Turinawe agambye nti Besigye yasazeewo okuyitako mu kifo kino kubanga abaayo baamusabye era nga talina tteeka ly’amenye mu kusisinkana abantu.

Bino nga biri biti,

Ab’ekibiina kya FDC bagamba nti tebajja kukkiriza kutiisibwatiisibwa ku nsonga y’abakuumi b’obululu.

Ab’ekibiina kino batonzeewo ebibinja bya bantu 10 kkumi mu buli kifo omulondebwa  okukuuma akalulu kyokka nga kino gavumenti yategeezezza dda nti ssi yakukikkiriza.

Wabula omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba nti ekibinja ekyaabwe ssi kyakukola mivuyo ng’ogwaabwe gwakulwanyisa babba bululu.

Ssemuju agamba nti etteeka ligamba nti bano balina okubeera mita 100 okuva webalondera era nga bakugoberera amateeka gano

Leave a comment

0.0/5