
Gavumenti ya Uganda yakafiirwa obuwumbi 11 mu masanyalaze agakolebwa negatakozesebwa
Okusinziira ku alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti, Uganda ekola amasanyalaze agaweza waati 685 kyokka ng’ekozesaako watts 550.
Ssababazi w’ebitabo bya gavumenti John Muwanga agamba nti gavumenti yassa ensimbi mpitirivu mu kukola amasanyalaze gano ng’okubeerawo nga tegakozesebwa kifiiriza eggwanga ensimbi.
Ssababazi alagidde gavumenti okukoma okukola amasanyalaze amalala okutuuka ng’akolebwa kati gonna gakozeseddwa
Mu bitundu by’eggwanga ebimu naddala mu byaalo, gavumenti etuusa emiti mu bantu kyokka nga tebasobola kugasika kuva ku miti olw’ebbula ly’ensimbi ate ng’abamu batya n’emisoso egijjira ku masanyalaze gano buli mwezi.