Gavumenti enenyezza ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu olwokulemererwa okulwanyisa obuseegu mu ggwanga.
Minisita omubeezi ow’empisa n’obuntumulamu Rev. Father Simon Lokodo agamba ebibiina bino biremesezza gavumenti okulwanyisa abalenga akaboozi abamu ku basaasanya obuseegu.
Bino Lokodo abyogedde asisinkanyemu ababaka ba palamenti y’eggwanga lya Tanzania abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga za siriimu wali ku kitebe ky’akakiiko akalwanyisa siriimu wano mu ggwanga.
Father Lokodo agamba siriimu okwongera okusaasana okutuuka ne ku bantu 7 ku buli kikumi okukwatibwa siriimu kivudde ku bantu bano nga bamalaaya okwetaba mu bikolwa eby’obukaba ebisaasanya siriimu.
Agamba bannayuganda abasoba mu kakadde akalamba bawangaala ne siriimu nga ku bano kuliko abaana emitwalo 17 wakati w’emyaka 10-17.
Wano w’asabidde bannayuganda n’ebibiina byobwabakyewa okuyamba ku gavumenti mu kulwanyisa ensonga z’obuseegu zino.