Olwaleero eggwanga lyonna lirinze minisita w’ebyensimbi Matia Kasaijja okusoma embalirira mulindwa ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 nga era yabutabalika 29 bwebuwumbi emitwalo 29000.
Gavumenti esuubira okukunganya obutabalika 15 ku nsimbi zino by’ebitundu nga 48% okuva mu misolo gyakuno.
Ensimbi 30% zakusaasanyizibwa ku byakuzimba nguudo, sso nga ebyamasanyalaze biriko obutabalika 2 n’obuwumbi 3.