Skip to content Skip to footer

Kattikiro akubirizza abavubuka mu byobukulembeze

Bya Ivan Ssenabulya

Kamalabyona wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuuka mu Buganda okuyayaniranga okubeera abakulembeze, ate abalungi.

Kattikiro yasinzidde Mukono akawungeezi akayise bweyabadde aggulawo olukungaana lwa’bavubuka olugenda okumala ennaku bbiiri ku Collin Hotel.

Ategezeza nti kyekiseera abavubuka okubeera abayiiya kungeri yokuvunukamu ebibasomooza, mu kifo kyokunenya abakulembeze.

Kattikiro mungeri yeemu akubirizza  abavubuka okutegekera obukadde bwabwe, mu myaka gyabwe emitto.

Olukungaana luno luvugidde ku mubala ‘Okunyweza obukulembeze bwa’bavubuuka mu Bwakabaka’

Leave a comment

0.0/5