Bya Sadat Mbogo
Omuliro gukutte ekizimbe mu maduuka g’e Bugobango mu ggombolola y’e Ngando mu district ey’e Butambala negwokya ebintu, ebiwerako n’okulumya abaana 2.
Kiteberezebwa nti abaana bano ababadde mu nnyumba, bebakolezezza ekibiriiti, akliro nekagwa ku bintu, olwo omuliro negulanda.
Abaana abasimattuse okufiira mu muliro ba mutuuze Bukulukulu James omugoba wa bodaboda, ngomu wa myaka 3 ate omulala wa myaka 2.
Abatuuze bwebawulidde enduulu badduse mangu okuddukirira, nga bakozesezzaa amazzi nettaka okuzikiza omuliro nebataasa abaana mu luggi lwe mmanju.
Ekizimbe ekiyidde kitegezeddwa nti Kya Ssentebe w’eggombolola y’e Ngando, Gumiisiriza Livingstone, ngono azze naddusa abaana bano mu ddwaliro lye Gombe gyebafunira obunjabi.