Poliisi mu disitulikiti ye Busia ekyanonyereza ku kyaviiriddeko omuvubuka ow’emyaka 16 okujiira mu nyumba.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Sowali Kamulya omugenzi amumenye nga Kenneth Ojambo omutuuze ku kyalo Bubambo mu gombolola ye Bulumbi .
Omuvubuka ono y’ajiiridde mu kasiisira ku ssaawa nga 6 ez’ekiro nga era baliraanwa baagenze okumutuusa mu ddwaliro lya Busia health centre IV nga y’afudde dda.
Okunonyereza okusoose kulaze nga omugenzi bweyerabidde akasubbaawa nga kaaka nekagwa ku katimba k’ensiri omuliro negulanda ku ssubi olwo negukwata enyumba yonna.