Ab’enganda za munnamawulire Andrew Lwanga betaaga doola emitwalo 5 okutwala mutabani waabwe mu America okujjanjabibwa enkizi eyakutuka.
Maama wa Lwanga, Jennifer Lwanga ategeezezza bannamawulire nti mutabani we takyasobola kutuula yadde okuyimirira ate nga n’abasawo ba wano babawadde amagezi okugenda ebweru
Lwanga owa WBS TV yakubwa eyali atwala poliisi ya kampala mukadde Joram Mwesigye bweyali addukanya emirimu egya mawulire ng’abavubuka abatalina mirimu beekalakaasa
Lwanga okuva olwo embeera ye ezze esereba nga kati wassiddwaawo n’ekiwenda ekisonda ensimbi okumuyambako
Gwo omusango gweyawaaba guzzeemu okuwulirwa mu maaso g’omulamuzi James Eremye agwongezezzaayo okutuuka nga 4 February, abajulizi abalala lwebanaleetebwa.