Bya ABDUL-NASSER SSEMUGABI
Omukubi webikonde omulala atiddwa, mu mbeera etanaba kutegerekaka.
Omugenzi ye Robert Mukasa, abadde amanyiddwa nga Soldier Man, kigambibwa nti yawambibwa abantu bebamu abagambibwa okutta Isaac Zebra Ssenyange.
Wabula ono olwaleero bamusanze mufu, ku nkambi yamagye e Bombo.
Kati mu kukungubaga olunnaku lwe ggulo, wabaddewo okwebuuza Mukasa waali kubanga Zebra Ssenyange yabadde amutendeka atega tamuva ku lusegere.
Omumyuka womwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire, yategezezza nti okufwa kwa Ssenyange bakitwala ngobutemu era okunonyereza kugenda mu maaso.
Wabula waliwo oluvuvumo, nti waliwo okulubirirra abakubi bebikonde okubatta.
Abakubi bebikonde abalala, Joe ‘Vegas’ Lubega ne Justin Juuko tebamanyikiddwako mayitire.
