Bya Damali Mukhaye,
Akulembera ekibiina kya National Unity platform era akikwatidde bendera ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi ayogedde ku kukwatibwa kwe mu distulikiti ye Kalagangala olunnaku lwe ggulo.
Kyagulanyi bwabadde tanayolekera mu distulikiti ye Mpigi, gyagenze okukuba kampeyini olwaleero, asinzidde mu maka ge e Mgere, nakukulumira abakuuma ddembe ne gavumenti olwokulemesa kampeyini ze.
Agambye nti Kalangala, waddenga ssi byebimu ku bitundu gyebagaana kampeyini bamugotanyizza.
Wabula poliisi yyo yategezezza nti kino kyakoleddwa, okumukugira obutakungaanya bantu bangi ekikontana namateeka ga ministule yebyobulamu.