Bya Ali Mivule
Ttiimu ya Uganda Cranes ne Senegal bagudde maliri mu mupiira gw’omukwano ogwazanyiddwa mu kibuga Dakar mu Senegal ku ssaawa mukaaga nga bukya.
Guno mupiira gwakubiri ogwomukwano nga Cranes eremagana nga ogwasoose bagudde maliri ne Ethiopia ku kisaawe kye Hawassa.
Wabula wabaddewo akasirikiriro okujjukira omuzanyi wa Ivory Coast Chieck Ismael Tiote eyatondokedde mu kisaawe n’afa nga batendekebwa mu ggwanga lya China.
Uganda kati yakuzanya Cape Verde olwomukaaga luno mu kusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2019.