Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago kyadaaki alangiridde nga bw’agenda okuddamu okuvuganya ku bya loodi meeya bw’ekibuga Kampala.
Bw’abadde asisinkanye abakulembeze b’ekisinde kya Truth for Justice nadala abagenda okwesimbawo ku bifo by’obulembeze mu Buganda ku Kelezia ya St Matia Mulumba mu Kampala, Lukwago agambye nti tasobola kulekera bukulembeze bwa Kampala ekibiina kya NRM.
Lukwago mu maaso g’ababaka okuli Ibrahim Ssemuju Nganda, Moses Kasibante, Latif Ssebagala Ssebuliba Mutumba n’abalala agambye nti bantu bangi ababadde babityebeka nti agenda kwesimbawo e Masaka gyazalwa oba ku bubaka bwa parliament mu Kampala nti naye kati bano abanukudde.
Lukwago nga yakalangirira enduulu n’emizira bibuutikidde abawagizi be.
Ye omubaka Ssebagala okuva e Kawempe oluwulidde ebigambo bya Lukwago nasulamu obuyimba obususuta Lukwago ne kisinde kya TJ.