Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya kyaddaaki avuddemu omwasi ku ky’okudda mu kibiina kya NRM.
Ng’ayogerako nebannamawulire e Namayumba Kakiri, Bukenya ategezezza nga ab’oludda oluvuganya bwebatalina kigendererwa kale nga kwali kumala budde okubegattako okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Akudaalidde akwatidde ekibiina kya FDC bendera Kiiza Besigye n’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi nti yayogeramu nabo naye ng’alaba teri alina mulamwa
Ono era atabukidde abamukolokoto nti bakyali mu bubuze naye oluvanyuma nabo bakulaba omusana.