Skip to content Skip to footer

Abakyala bakwekalakaasa

Abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala balangiridde nga bwebagenda okutambula mu kibuga mu kwekalakaasa nga bavumirira eky’okwambula omukyala.

Fatuma Naigaga nga y’akola ku by’obutonde bw’ensi mu FDC yayambuddwa poliisi bweyabadde emukwata ng’ali wamu nebannakibiina ababadde bagenda e Rukungiri ku lukungaana lwa FDC.

Ab’ebibiina ebirwanirizi by’eddembe ly’abakyala okuli UWONET, FIDA, FOWADE n’ebirala bigamba nti keekadde pulezidenti Museveni agamba nti alumirirwa abakyala aveeyo ku nsonga eno.

Akulira ekibiina kya UWONET Perry Aritua agambye nti kino kigendereddwaamu kuggya bakyala mu byabufuzi ekintu ekitajja kukkirizibwa

Flavia Kalule okuva mu kibiina kya FOWODE agamba nti ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura alina okukakasa abakyala nti kino ssikyakuddamu kubaawo.

Leave a comment

0.0/5