Bya Ruth Anderah ne Ben Jumbe .
Olunaku olwaleero ba- Puliida ba government nate bazeemu okuteeka wansi ebikola, nga kino kidiridde government okulemwa okutuukiriza byeyeeyama mu naku 90 zebakaanyako.
Kinajukirwa nti bono mu july w’omwaka guno oluvanyuma lw’okwekalakaasa okumala akabanga, Minister akola ku by’amateeka Gen Kahinda Otafiire yabasisinkana n’asuubiza okukola ku nsonga zaabwe mu naku 90 zokka.
Mubimu bano byebaaki basaba kuliko okubongeza ku musaaala, okubawa obukuumi , kko n’entambula.
Kati amakya ga leero twogedeko n’akulira ekibiina ekibataba ekya Uganda prosecutors Association Baxter Bakibinga n’agamba nti okuva lwebaatula mpaawo yali azeemu ku banyega, kale kwekusalawo okusigala ewaka leero.
