Skip to content Skip to footer

Abasawo bakwekalakaasa okutandika mu November.

Bya Emma Ainebyona.

 

Ate bbo abasawo wansi w’ekibina kyabwe ekya Uganda Medical Association basazeewo  nti okutandika nga November 6 bagenda kuteeka wansi ebikola okutuusa nga government etukiriza by’ebasaba.

Bano bakaanya nti balina okwongezebwa ku musaala, kko n’obusiimo, kale nga singa kino tekikolebwa eby’okudda ku mirimo gov’t ebiveeko.

Okwekalakasa kwabano kwabadde kwakutandika kawungezi kayisse, wabula Dr Ekwaro Obuku  nga ono yakulira ekibiina ekibagatta n’ategeeza nti tekikola makulu okwekalakasa nga abantu tebamaze kukimanyaako.

Leave a comment

0.0/5