Skip to content Skip to footer

Omusomesa asse omuyizi

Poliisi mu disitulikiti ye Luuka eriko omusomesa wa myaka 23 gw’ekutte ng’ono ogumulangibwa kutta muyizi gw’asomesa

Patrick Kyakuline ng’asomesa ku ssomero lya St Paul Nakabale primary school kigambibwa okuba  nga yatulugunyizza omuyizi w’ekibiina ky’omusanvu okukkakkana ng’amusse

Atwala okunonyereza ku misango ku poliisi ye Luuka David Agii agambye nti omuyizi attiddwa ye as Stuart Matende wa myaka 15 ng’afudde bamuddusa mu ddwaliro oluvanyuma lw’omusomesa okumukuba emiggo ku mbiriizi.

Yye taata w’omugenzi Wilson Balabye asabye omusomesa ono avunaanibwe kubanga ayagala bwenkanya.

Ate ebyo ng’obitadde ku mabbali,

Taata w’omuyizi we Kyambogo eyasangiddwa mu muzigo wge ng’afudde ayagala wabeewo okunonyereza ku ngeri muwala we gyeyafudde etategerekeka

George Amanda agamba nti muwala we Abbia Nankoma tabadde mulwadde era ng’amawulire gano gabakubye wala.

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango n’omwogezi we Kyambogo Lawrence Madete bategeezezza nga bwebalinze alipoota y’abasawo batandikire awo.

Omuyizi ono ow’emyaka 23 abadde mu mwaka gwe ogw’okusatu omulambo gwe gwasangiddwa mu muzigo gwe ku makya.

Kizibwe w’omugenzi Rose Kibirke agambye nti Nankoma yadda ewaka ku lunaku lwa ssande nga teyewulira bulungi.

Leave a comment

0.0/5