
Omuntu omu alumiziddwa mu kavuyo akabadde mu kulonda kw’akamyufu k’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Nakaseke.
Kigambibwa nti Lauben Wokulirao mutuuze we Kalege atemeddwa ejjambiya nga abawagizi b’abesimbyewo ku bwa ssentebe bw’egombolola ye Semuto balwanagana.
Okuvuganya kuli wakati wa ssentebe aliko Henry Nswemu n’amuvuganya Ismail Kasozi.
Wokulira abadde ku kibinja ekibadde kilondoola Henry Nswemu gwebalumiriza okugulirira abalonzi e kiro mu kavuvungano nebamutema era ali mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Savannah Lameck Kigozi ategezezza nga omuntu omu bw’akwatiddwa ku fujjo lino.
Okulonda kw’akamyufu k’ekibiina kya NRM kuyimiriziddwa mu municipaali ye Mbale oluvanyuma lw’okufa kwa minisita Dr. James Mutende.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba ategezezza nga bwebagenda okulangirira enteekateeka empya kale nga kampeyini zisaanye okukoma mbagirawo.
Lumumba agamba amateeka gakilambika bulungi nti omuntu bw’afa nga y’akamala okusunsulibwa okwesimbawo, okulonda kuyimirizibwa era baba balina okuddamu okusunsula.
Lumumba era alabudde abavuganya mukyala Mutende ono nga ye Lydia Mutende okwewala okusiiga nammwandu enziro okwagala okumulemesa okwesimbawo nga bamulumiriza okuwa bba obutwa n’amutta ekitali kituufu.
Omugenzi Mutende y’abadde y’asunsuddwa dda okwesimbawo ku bukiise bwa municipaali ye Mbale.
Ebbugumu lyeyongedde e Mukono ngakalulu ka NRM aka kamyufu kagenda okukubibwa.
Aba NRM abavuganya bwebali ku mbiranye eyamaanyi batuziddwa naye balemereddwa okutuuka ku nzikiriziganya.
Muyanja Ssenyonga ne Bakaluba Mukasa saako abalala bayitiddwa naye olukiiko luwedde ng’okwemulugunya tekugonjoddwa.
Muyanja awakanya ekyokumuyita owa DP okumusindikiriza okumujja mu NRM, ensimbi empitirivu ezigabibwa mu bantu nekitongole kya police okukozesebwa mu kulonda kwabwe okwomunda.
Eno balumirizza Minister Ronald Kibuule okukozesa police nga yegaba ensimbi mu balonzi okubagulirira yadde nga bino byonna bazze babyegaana.
Mungeri yeemu Kibuule n’omubaka Bakaluba bazizze olukiiko luno nga bebasinze okulumiriza okuleeta vvulugu mu kuvuganya.
Ssentebbe wa NRM mu district ye Mukono Ssebaggala Twahiri agambye bakugenda maaso okutabaganya banakibiina.