Skip to content Skip to footer

Abalamuzi babaletedde yunifoomu

Bya Ruth Anderah

Abalamuzi nabakozi be’ssiga eddamuzi bonna bawereddwa, yunifoomu okuli amannya gaagwe, nga kino abakulu bagamba nti kigendereddwamu okulwanyisa ebikolwa byenguzi.

Ku mukolo ogwokutongoza ekyambalo kyabalamzi nabakozi, omuwandiisi owenkalakkalira owe’siga eddamuzi Pius Bigirimana, agambye nti babadde bafunye okwemulugunya okuwerako, ku bakozi abajja ssente ku bantu.

Kati Bigirimana asabye abantu babulijjo okuloopa abakozi bonna ababasaba ssente, nokweyingira mu bikolwa ebimenya amateeka.

Mu biralala era agambye nti bagend kuteeka camera mu bifo ebyenjawulo okulondoola abakozi.

Leave a comment

0.0/5